Psalms 95:8-10

8 a“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba
Meriba kitegeeza okwemulugunya
,
ne ku lunaku luli e Maasa
Maasa kitegeeza kugezesa
mu ddungu;
9 dbajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 eAbantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
Copyright information for LugEEEE